Genesis 41:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Yozefu nti: “Nze Faraawo, naye tewali n'omu mu nsi yonna ey'e Misiri anaasitula mukono oba kigere kye nga ggwe tomuwadde lukusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, era mu nsi ey'e Misiri tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere nga tokkirizza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nze kabaka era mu nsi ey'e Misiri tewali n'omu aligolola omukono gwe, wadde ekigere kye nga tokkirizza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze ndi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna eye Misiri.