Genesis 41:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'atuuma Yozefu erinnya Zafenati-Paneya, n'amuwa Asenati muwala wa Potifera, kabona w'e Oni abeere mukazi we. Yozefu n'atandika okutalaaga wonna mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi, kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atuuma Yosefu erinnya Zafenati Paneya, n'amuwa Asenati, muwala wa Potifera kabona ow'e Oni, okumuwasa. Yosefu n'atalaaga ensi ey'e Misiri yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri.