Genesis 41:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okulya obwami ewa Faraawo Yozefu yali wa myaka amakumi asatu. N'ava ewa Faraawo ne yeetooloola ebitundu byonna eby'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu yali awezezza emyaka asatu (30) we yatandikira okuweereza Falaawo, kabaka w'e Misiri. Yusufu n'ava mu maaso ga Falaawo, n'atambula n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri n'agibunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu yali aweza emyaka amakumi asatu we yatandikira okuweereza kabaka w'e Misiri. N'ava mu lubiri lwa kabaka, n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka we Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri.