Genesis 41:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'akuŋŋaanya emmere ensi y'e Misiri gye yabaza mu myaka omusanvu, n'agitereka mu bibuga, nga mu buli kibuga aterekawo eyo eyabazibwa mu nnimiro ezetooloddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'akuŋŋaanyanga emmere nnyingi nnyo mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere okuva mu nnimiro ezikyetoolodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agikuŋŋaanyanga yonna, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere ey'omu nnimiro ezikyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuŋŋaaayanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n’aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnuniro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo.