Genesis 41:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu yatuuma eŋŋano nnyingi nnyo okwenkana omusenyu gw'ennyanja okutuusa lwe yalekeraawo n'okuwandiika buli eyaleetebwanga, kubanga yasukkirira empima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima kubanga yali tekyapimika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima, kubanga yali tekyapimika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'atereka eŋŋaano ng'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika.