Genesis 41:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjala nga tennagwa Yozefu yafuna abaana ab'obulenzi babiri mukazi we Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asenaasi, omwana wa Potiferi, kabona we Oni, n'azaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri, omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka egy'enjala nga teginnatuuka, Yosefu n'afuna abaana babiri ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaansi omwana wa Potiferi kabona owe Oni be yamuzaalira.