Genesis 41:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuggulanda yamutuuma Manasse ng'agamba nti: “Omukama anneerabizza ebizibu byange byonna n'ennyumba ya kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manase; eritegeeza nti, “Katonda anneerabizza ennaku yange yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'atuuma omubereberye erinnya Manase: nti Kubanga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna.