Genesis 41:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owookubiri n'amutuuma Efurayimu, ng'agamba nti: “Katonda ampadde okuzaala mu nsi mwe ndabidde ennaku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu; eritegeeza nti, “Katonda anjalizza mu nsi ey'okubonaabona kwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu, kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange.