Genesis 41:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika nga Yozefu bwe yali alanze. Mu nsi endala zonna nga njala, naye mu Misiri yonna emmere nga gy'eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka omusanvu (7) egy'enjala ne gitandika, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika, nga Yosefu bwe yagamba. Enjala n'egwa mu nsi zonna. Naye mu nsi ey'e Misiri, mwo ng'emmere mweri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri.