Genesis 41:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjala bwe yeeyongera mu Misiri, abantu ne beekubira omulanga ewa Faraawo nga basaba emmere. Ye n'ayanukula Abamisiri nti: “Mugende ewa Yozefu, kyonna ky'anaabagamba, kye muba mukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere; Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti, “Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mubikolenga bwe mutyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Misiri yonna bwe baalumwa enjala, ne bakaabirira kabaka olw'emmere. Bonna kabaka n'abagamba nti: “Mugende eri Yosefu, ky'anaabagamba kye muba mukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo.