Genesis 41:56 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjala n'ebuna wonna mu nsi. Yozefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri emmere, kubanga enjala yali ekanyizza mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjala n'ebuna ensi zonna; Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjala n'eba nnyingi, n'ebuna wonna mu nsi ey'e Misiri. Yosefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri.