Genesis 41:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera Faraawo yali omutima gumutabanguse, n'atumya abalaguzi n'abantu abagezi bonna mu Misiri, n'abanyumiza ebirooto, ne wabulawo abimuvvuunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwakya enkya, Falaawo ne yeerariikirira, n'atumya abalaguzi n'abagezigezi, bonna ab'omu Misiri; n'ababuulira ebirooto bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkya mu makya ne yeeraliikirira, n'atumya abalaguzi bonna n'abagezigezi bonna ab'omu Misiri, n'ababuulira ebirooto bye, naye ne wataba n'omu ayinza kumuvvuunulira makulu gaabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinza okutegeeza Falaawo amakulu gaakyo.