Genesis 42:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Si bwe kityo, ssebo; wabula abaweereza bo bazze kugula mmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Nedda mukama waffe; abaddu bo tuzze kugula mmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti, “Nedda, mukama waffe, naye ffe abaddu bo tuzze kugula mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Nedda, mukama waffe. Naye ffe abaweereza bo, tuzze kugula mmere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Nedda, mukama wange, naye abaddu bo bazze okugula emmere.