Genesis 42:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abaanukula nti: “Sikkiriza. Muzze kwekkaanya bitundu bya nsi ebitakuumiddwa bulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye n’abaddamu nti, “Nedda muzze kulaba obunafu bw’ensi yaffe bwe buli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Nedda, naye muzze okulaba obunafu bw'ensi yaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'abagamba nti: “Nedda, ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe bye muzze okulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Nedda, naye muzze okulaba ensi bw'eteriimu.