Genesis 42:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko bo nti: “Abaweereza bo tuli ba luganda kkumi na babiri, baana ba kitaffe omu mu nsi Kanaani; omuggalanda ali ne kitaffe kaakati, omulala takyaliwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Abaddu bo tuli kkumi na babiri, tuli baana ba muntu omu mu nsi ya Kanani, laba muto waffe n’olwa leero ali ne kitaffe, n’omulala yafa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri (12), ab'omu nsi ya Kanani; naye muto waffe omu asigaddeyo ne kitaffe, ate omulala taliiwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Ffe abaweereza bo, tuli abooluganda kkumi na babiri, nga tuli baana ba kitaffe omu, mu nsi ya Kanaani. Muganda waffe omu takyaliwo, ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana b'omu mu nsi ya Kanani; era, laba, omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero, n'omu taliiwo.