Genesis 42:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kugezebwa bwe muti: Mazima Faraawo nga mulamu, temujja kuva wano, okutuusa nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kubategeerera ku kino, ndayidde obulamu bwa Falaawo temujja kuva wano, okuggyako nga muto wammwe aleeteddwa wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndayidde obulamu bwa Falaawo, mujja kugezebwa bwe muti: temugenda kuva wano okutuusa nga muganda wammwe oyo eyasigaddeyo azze wano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujja kugezebwa bwe muti: nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti temujja kuva wano, wabula nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe mulikemebwa bwe muti: ndayidde obulamu bwa Falaawo, temugenda kuva wano, wabula omwana wa bommwe ng'azze wano.