Genesis 42:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutume omu mu mmwe aleete muganda wammwe; mmwe mujja kusigala mu kkomera, bye mugamba bimale okukakasibwa oba bya mazima. Oba si ekyo, Mazima Faraawo nga mulamu, muli bakessi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutume omu ku mmwe, aleete muganda wammwe, mwe mubeere mu kkomera, ebigambo byammwe byetegerezebwe obanga ddala bye mwogedde bya mazima. Oba si ekyo ndayidde obulamu bwa Falaawo, muli bakessi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutume omu ku mmwe akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe, nammwe munaasibibwa, ebigambo byammwe bikemebwe, oba nga amazima mwegali mu mmwe: oba bwe mutaakole bwe mutyo, ndayidde obulamu bwa Falaawo, mazima muli bakessi.