Genesis 42:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwokusatu n'agamba nti: “Mukole kye nnaagamba lwe munaalama, anti nange ntya Katonda:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokusatu Yusufu n’abagamba nti, “Mukole bwe muti okuwonya obulamu bwammwe, kubanga ntya Katonda;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwokusatu Yusufu n'abagamba nti, “Ndi muntu atya Katonda, mukole bwe muti mubeere abalamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokusatu, Yosefu n'agamba nti: “Ndi muntu assaamu Katonda ekitiibwa. Kale mukole kye ŋŋamba, mulyoke muwonye obulamu bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'abagamba ku lunaku olw'okusatu nti Mukole bwe muti, mubeere abalamu; kubanga ntya Katonda: