Genesis 42:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba mwogera mazima, muganda wammwe omu asigale mu kkomera; mmwe abalala mugende, mutwale ewammwe eŋŋano gye muguze olw'ab'omu maka gammwe abalumwa enjala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obanga ddala muli basajja b’amazima, omu ku baganda bammwe asigale ng’asibiddwa mu kkomera, abalala mugende mutwalire abantu bammwe emmere,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba nga muli ba mazima, omu ku mmwe asigale nga musibe mu kkomera mwe mubadde, naye mmwe abalala mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano gye muguze, baleme okufa enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga muli bantu ba mazima, omu ku baganda bammwe asigale wano mu kkomera mwe mubadde musibiddwa, naye mwe abalala mugende, ab'omu maka gammwe abafa enjala mubatwalire eŋŋaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asibibwe mu nnyumba ey'ekkomera lyammwe; naye mmwe mugende, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe;