Genesis 42:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne muganda wammwe asembayo obuto mumundeetere, ndyoke nkakase bye mugamba, lwe mutaafe.” Ne bakola ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mundeetere muto wammwe, olwo ebigambo byammwe bikakasibwe muleme okufa.” Awo ne bakola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mundeetere muto wammwe; ekyo kirikakasa nga bye mwogedde bya mazima, nammwe temulittibwa.” Ne bakola bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mundeetere muganda wammwe asembayo obuto. Ekyo kirikakasa nti bye mwogedde bya mazima, era siribatta.” Ne bakkiriza okukola bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mundeetere omwana wa bommwe; ebigambo byammwe bwe biritegeezebwa nga bya mazima bwe bityo, nammwe temulifa. Ne bakola bwe batyo.