Genesis 42:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagambagana bokka na bokka nti: “Tubonerezebwa lwa muganda waffe; twalaba ennaku gye yalimu n'atuwanjagira tuwonye obulamu bwe, naye ne tutamuwuliriza; ennaku eno kyevudde etujjira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagambagana nti, “Ddala tuliko omusango gwa muganda waffe, kubanga twalaba nga mweraliikirivu, bwe yatwegayirira ne tutamuwuliriza; akabi kano kyekavudde katutuukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagambagana nti, “Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku eno ky'evudde etutuukako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagambagana nti: “Mazima omusango gwatusinga olwa muganda waffe, kubanga twalaba bw'abonaabona bwe yatwegayirira, naye ffe ne tugaana okuwulira, kye tuvudde tubonaabona bwe tuti!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagambagana nti Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako.