Genesis 42:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rubeni n'agamba nti: “Saabagamba nti: ‘Muleme kukola mwana kibi?’ Mmwe temwampuliriza. Kati tubuuzibwa omusaayi gwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lewubeeni kwe kubaddamu nti, “Nnabagamba muleme kukola kabi ku mulenzi, nga mmwe temumpuliriza; kale omusaayi gwe kyeguva gutuwalanwako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti, “Ssaabagamba nti temukola kabi ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? Era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rewubeeni n'abaddamu nti: “Ssaabagamba nti omwana temumukolako kabi, naye mmwe ne mugaana okuwulira? Kaakano kyetuva tubonerezebwa olw'okufa kwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti Saababuulira nti Temusobya ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa.