Genesis 42:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali tebamanyi nti Yozefu ategeera kubanga yayogeranga nabo mu mutaputa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batamanya nti Yusufu ategedde bye boogedde, kubanga bayogeranga naye nga bayita mu mutaputa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omuvvuunuzi yabanga wakati we nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batamanya nga Yosefu ategedde bye boogera, kubanga baayogeranga naye nga waliwo abavvuunulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omutegeeza yabanga wakati we nabo.