Genesis 42:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeewungulako okuva we baali n'akaaba; bwe yadda n'ayogera gye bali n'abalondamu Simewoni n'amusiba, nga nabo weebali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’atunula ebbali n’akaaba, ate n’akyuka gye bali n’ayogera nabo. Awo n’atwala Simyoni n’amusiba nga balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'ava we bali, n'akaaba amaziga; oluvannyuma bwe yaddayo gyebali n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'ava we bali, n'akaaba amaziga. N'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusiba nga balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakuba enkoona, n'akaaba amaziga; n'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe.