Genesis 42:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yozefu n'alagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋano, ssente za buli omu bazizze mu nsawo ye, babawe n'entanda ey'ekkubo. Ne babakola bwe batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋaano, era bazze ensimbi za buli omu mu nsawo ye, baweebwe n’entanda; ne bibakolerwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yusufu n'alagira okujjuza ensawo zaabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo. Ne babakolera bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'alagira okujjuza ensawo za baganda be eŋŋaano, n'okuddiza buli omu ensimbi ze mu nsawo ye, era n'okubawa entanda. Ne babakolera bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yusufu n'alagira okujjuza ebintu byabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo: ne babakolera bwe batyo.