Genesis 42:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mugiini, omu bwe yasumulula ensawo awe ku ndogoyi ye emmere, n'alaba ssente ku mumwa gw'ensawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye nga bali mu kifo mwe baasula, n’alaba ensimbi ze ku mumwa gw’ensawo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye, mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye nga eri ku mumwa gw'ensawo ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuwa endogoyi ye ebyokulya mu kifo we baasula, n'alaba ensimbi ze ku mumwa gw'ensawo ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye; era, laba, yali mu kamwa k'ensawo ye.