Genesis 42:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba baganda be nti: “Ssente zange baazinzirizza; laba ziizino mu nsawo.” Ne bawuniikirira, buli omu n'atunula ku munne nga batidde, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agamba baganda be nti, “Ensimbi zange baazinzirizza, ziizino mu kamwa k’ensawo yange!” Ekyo ne kibeeralikiriza, buli omu n’atandika okutya, nga bwe bagamba nti, “Kiki kino Katonda ky’atukoze!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba baganda be nti, “Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange.” Emitima gyabwe ne gibatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti, “Kino kiki Katonda ky'atukoze?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba baganda be nti: “Ensimbi zange bazinzirizza, ziizino mu nsawo yange.” Emitima ne gibatyemuka, ne bakankana, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba baganda be nti Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange; omwoyo gwabwe ne gubatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti Kino kiki Katonda ky'atukoze?