Genesis 42:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukulu w'ensi yatukambuwalira; yatutwala ng'abaali bagenze okuketta ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja omufuzi w’ensi y’e Misiri yayogera naffe n’obukambwe era n’atuyisa nga abaali bagenze okuketta ensi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza okuba abakessi b'ensi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja omufuzi wa Misiri yayogera naffe n'ebboggo, n'atulumiriza nti tuketta ensi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza ng'abakessi b'ensi.
Recommended Reading