Genesis 42:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuli ba luganda kkumi na babiri, tuzaalibwa kitaffe omu, omu ye takyaliwo, ate omuto ali ne kitaffe mu nsi Kanaani.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tuli abooluganda kumi na babiri, baana ba muntu omu, munnaffe yafa, ne muto waffe olwa leero ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tuli ba luganda kkumi na babiri (12), kitaffe omu; omu ku ffe taliiwo, ate muto waffe asigadde ne kitaffe mu nsi ya Kanani.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuli abooluganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe omu. Muganda waffe omu takyaliwo. Ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano mu nsi ya Kanaani.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe; omu taliiwo, n'omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero mu nsi ya Kanani.