Genesis 42:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja afuga ensi eyo n'atugamba nti: ‘Kuno kwe nnaategeerera nga temuli bakessi: muganda wammwe omu mumuleke wano, mutwale emmere olw'enjala eruma ab'ewammwe, mugende;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo omusajja oyo omufuzi w’ensi n’atugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw’enjala eri mu maka gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti, ‘Ku kino kwe nditegeerera nti muli baamazima; Omu ku mmwe asigale wano nange, naye abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, baleme okufa enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo omufuzi wa Misiri, n'atugamba nti: ‘Ku kino kwe nnaategeerera nga muli bantu ba mazima: omu ku mmwe mumuleke wamu nange, abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, abafa enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti Bwe nti bwe nditegeera nga muli basajja ba mazima: muleke wamu nange omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe, mwegendere: