Genesis 42:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
muganda wammwe asembayo obuto mumundeetere, lwe nnaategeera nti temuli bakessi muli bantu balungi; olwo muganda wammwe ali mu kkomera nzija kumubaddiza; olwo nammwe mulikkirizibwa okusuubulira mu nsi eno.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mundeetere muto wammwe, kwe nnaategeerera nga temuli bakessi, muli basajja b’amazima, olwo ne ndyoka mbawa muganda wammwe, mulyoke mugule emmere mu nsi eno.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mundeetere muto wammwe; olwo lwe n'ategeera nga temuli bakessi n'akatono, naye nga muli basajja ba mazima; bwe ntyo ndibaddiza muganda wammwe, nammwe munaasuubulanga mu nsi eno.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto, olwo nditegeera nga temuli bakessi, naye nga muli bantu ba mazima. Ndibaddiza muganda wammwe, era munaasuubulanga mu nsi eno!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mundeetere omwana wa bommwe: awo nnaategeera nga temuli bakessi n'akatono; naye nga muli basajja ba mazima: bwe ntyo ndibawa muganda wammwe, nammwe munaagulanga mu nsi.