Genesis 42:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bafukumula ensawo, buli omu n'asanga akasawo ka ssente ze mu nsawo ye; bo ne kitaabwe bwe baalaba obusawo bwa ssente, ne batengera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka eka, buli eyafukumulanga ensawo ye, laba ng’omuvumbo gw’ensimbi ze mweziri. Awo bo ne kitaabwe bwe baalaba emivumbo gy’ensimbi ne batya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli muntu n'asanga effeeza ye mu nsawo ye; bo ne kitaabwe, bwe baalaba buli omu effeeza ye ne batya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli omu n'asanga mu nsawo ye ensimbi ze, ze yasiba. Bwe baalaba ensimbi zaabwe ze baasiba, bo ne kitaabwe ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, laba, omutwalo gw'effeeza ogwa buli muntu gwali mu nsawo ye: bo ne kitaabwe bwe baalaba emitwalo gyabwe egy'effeeza, ne batya.