Genesis 42:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaabwe Yakobo n'agamba nti: “Mummazeeko abaana: Yozefu takyaliwo, Simewoni naye kye kimu, kati ne Benyamiini mwagala kumutwala. Buli kimu kigwiridde nze!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo kitaabwe n’abagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo kitaabwe n'abagamba nti, “Nze mummazeeko abaana bange; Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, ate era mwagala okunzigyako ne Benyamini; ebyo byonna binzitoowerera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo kitaabwe n'agamba nti: “Mummazeeko abaana bange: Yosefu takyaliwo, ne Simyoni takyaliwo. Era kaakano mwagala okunzigyako ne Benyamiini. Ebyo byonna bibonyaabonya nze!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo kitaabwe n'abagamba nti Nze munziyeeko abaana bange: Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, era mwagala okunziyaako ne Benyamini: ebyo byonna binzitoowerera.