Genesis 42:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'agamba nti: “Omwana wange tajja kuserengeta nammwe. Muganda we yafa, ye yekka asigaddewo. Singa akabenje kamugwiira mu kkubo, omutwe gwange ogujjudde envi mugenda kuguserengesa emagombe mu nnaku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yakobo n’agamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye y’asigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Omwana wange tajja kugenda nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka; akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera kulinzita nze omukadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yakobo n'agamba nti: “Omwana wange tajja kugenda nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye, ye asigaddewo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala.