Genesis 42:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benyamiini muganda wa Yozefu, Yakobo teyamusindika na baganda be ng'atya nti: “Sikulwa ng'akabenje kamugwiira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Yakobo n’atasindika Benyamini, muto wa Yusufu wamu ne baganda be kubanga yatya nti akabi kayinza okumutuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo teyamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti oba oli awo akabi kayinza okumubaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Benyamiini, muganda wa Yosefu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti sikulwa ng'akabi kamutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be; kubanga yayogera nti Mpozzi akabi kaleme okumubaako.