Genesis 42:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yisirayeli be bamu ku bantu abaagenda okugula eŋŋano. Anti ne mu nsi y'e Kanaani waaliyo enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo batabani ba Isirayiri ne bajja mu Misiri wamu n’abalala abajja okugula emmere, kubanga ensi ya Kanani yali ejjudde enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri ne bajja awamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga mu nsi ya Kanani mwalimu enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo batabani ba Yisirayeli ne bajja wamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga waaliwo enjala mu nsi ya Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Isiraeri ne bajja okugula mu abo abajja: kubanga enjala yali mu nsi ya Kanani.