Genesis 42:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati Yozefu yali mukungu atwala ensi, nga y'aguza abantu eŋŋano. Baganda be bwe bajja, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka ne bamuvunnamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Yusufu ye yali afuga Misiri; nga y’aguza abantu emmere. Awo baganda be ne bajja ne bamuvuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu ye yali omukulu w'ensi; era ye yaguzanga abantu bonna emmere. Awo baganda be ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu ye yali omufuzi w'ensi ey'e Misiri, era ye yaguzanga abantu bonna abaavanga wonna mu nsi. Baganda be ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yusufu ye yali omukulu w'ensi; oyo ye yaguzanga abantu bonna ab'omu nsi: baganda ba Yusufu ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi.