Genesis 42:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yabalaba n'abategeera, naye ne yeeyisa ng'atabamanyi, n'ayogera nabo na bukambwe; n'ababuuza nti: “Muva wa?” Ne baanukula nti: “Mu nsi y'e Kanaani, tuzze kugula mmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'alaba baganda be, n'abategeera, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gyebali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'ababuuza nti, “Muva wa?” Ne baddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu bwe yalaba baganda be, n'abategeera, naye n'abayisa nga b'atamanyi, n'ayogera nabo n'ebboggo, n'abagamba nti: “Muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva mu nsi ya Kanaani, tuzze kugula mmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alaba baganda be, n'abekkaanya, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gye bali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'abagamba nti Muva wa? Ne boogera nti Mu nsi ya Kanani okugula emmere.