Genesis 42:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu baganda be yabategeera, naye bo tebaamumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yusufu n’ategeera baganda be kyokka bo ne batamutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu yategeera baganda be, naye bo tebaamutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamwekkaanya.