Genesis 43:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaabwe Yisirayeli n'abagamba nti: “Oba bwe tulina okukola, kale musse ebimu ku bibala by'ensi ebisingira ddala obulungi mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ebirabo: akatono ku masanda ag'eddagala, akatono ku mubisi gw'enjuki, ebirungo, obubaani bwa mirra, enje za pisitaaki ne ku ndoozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, n’omubisi, n’omugavu, n’obubaane ne mooli n’ebinyeebwa ne Alumoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri kitaabwe n'abagamba nti, “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi: ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, omugavu, n'obubaane, ebinyebwa n'endoozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisirayeli kitaawe n'abagamba nti: “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi, ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, ku by'akawoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, ne ku binyeebwa eby'omu ttaka n'eby'oku miti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obulungi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, envumbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugavu n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi: