Genesis 43:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wange Omuyinza wa buli kantu abagirire ekisa mu maaso g'omusajja, abateere muganda wammwe oli, n'ono Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana, ka mbafiirwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda Ayinzabyonna abawe omukisa mu maaso g’omusajja, alyoke aleke muganda wammwe oli awamu ne Benyamini bakomewo. Obanga obulumi bw’okufa kw’abaana bange bulintuukako, kale.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda Omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja, abasumululire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda Omuyinzawaabyonna abakwatirwe ekisa nga muli mu maaso g'omusajja, omusajja alyoke abaddize muganda wammwe omulala, ne Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana bange, ndibafiirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Katonda omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja abasumulurire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.