Genesis 43:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yabalaba Benyamiini ng'ali nabo, n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti: “Abasajja batwale mu nnyumba ewange, tta ensolo, oteeketeeke ekijjulo, kubanga mu ttuntu bajja kulya nange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu bwe yalaba nga bali ne Benyamini n’agamba omuweereza we nti, “Bayingize mu nnyumba, otte ensolo ofumbe ekijjulo, kubanga abasajja abo baakulya nange ekyemisana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti, “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo; kubanga bajja kuliira wamu nange eky'emisana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu bwe yalaba Benyamiini nga ali wamu nabo, n'agamba omuwanika we nti: “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo, kubanga bajja kuliira wamu nange ekyemisana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti Twala abasajja mu nnyumba, obabaagire, oteeketeeke; kubanga abasajja banaaliira wamu nange mu ttuntu.