Genesis 43:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batya okutwalibwa mu nnyumba ewa Yozefu, ne bagambagana nti: “Oba lwa ssente ezazzibwa mu nsawo zaffe mu kusooka, kyetuvudde tuleetebwa wano. Ayagala atuvumbagire, atukwate lwa maanyi, atufuule baddu n'endogoyi zaffe azitwale.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ne batya olw’okutwalibwa mu nnyumba ya Yusufu, ne bagamba nti kino kizze lwa nsimbi ezatuddizibwa ne ziteekebwa mu nsawo zaffe omulundi guli, kyetuvudde tuleetebwa wano, anoonye ensonga ku ffe atuvunaane, atufuule abaddu awambe n’endogoyi zaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti, “Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; alyoke atuvunaane, atuwamatukireko, atunyageko endogoyi zaffe, atufuule abaddu be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda ne batya olw'okuleetebwa mu nnyumba ya Yosefu. Ne bagamba nti: “Batuleese muno, olw'ensimbi ezazzibwa mu nsawo zaffe ku mulundi ogwasooka, alyoke atuvunaane, atufubutukire, atunyageko endogoyi zaffe, era atufuule abaddu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe.