Genesis 43:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmere gye baali baggye mu Misiri bwe yaggwaawo, Yakobo n'agamba batabani be nti: “Muddeeyo mutugulireyo ku mmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga ne mmere gye baggya e Misiri yonna eriiriddwa, kitaabwe n’abagamba nti mugende mutugulire emmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri n'eggwaawo, kitaabwe n'abagamba nti, “Muddeyo nate, mutugulire akamere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baamala okulya eŋŋaano yonna, gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'agamba nti: “Muddeeyo mutugulire ku kamere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'abagamba nti Mugende nate, mutugulire akamere.