Genesis 43:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe twatuuka ku mugiini, ne tusumulula ensawo zaffe, buli omu n'asangamu ssente ze, mu muwendo gwazo ddala. Kati tuzikomezzaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe twatuuka mu kifo we twasula, ne tusumulula ensawo zaffe, nga mu buli kamwa k’ensawo ya buli omu mulimu ensimbi ze ezaali ez’okugula emmere, kyetuvudde tuzizza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe twatuuka mu kifo wetwasuula nga tuddayo ewaffe, netusumulula ensawo zaffe, netusanga effeeza eya buli omu ng'eri ku mumwa gw'ensawo ye; era tugikomezzaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twatuuka mu kifo we twasula nga tuddayo eka, ne tusumulula ensawo zaffe, ne tusanga ensimbi za buli omu nga ziri ku mumwa gw'ensawo ye, era tuzikomezzaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era, laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe.

Recommended Reading