Genesis 43:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Mubeere mirembe; muleke kutya. Katonda wammwe, Katonda wa kitammwe ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; kubanga ssente zammwe zantuukako bulungi.” N'aggyayo Simewoni n'amubaleetera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye n’abaddamu nti, “Mubeere bagumu temutya. Katonda wammwe era Katonda wa kitammwe ye yabateekera obugagga mu nsawo zammwe; ensimbi zammwe nazifuna.” Awo kwe kubaleetera Simyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwanika n'abagamba nti, “Mubeere n'emirembe, temutya; Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; naye nze nnaweebwa effeeza yammwe gye mwasasula.” Awo n'abasumululira Simyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwanika n'agamba nti: “Temweraliikirira, temutya. Katonda wa kitammwe ye yabateeramu ensimbi ezo mu nsawo zammwe. Nafuna ensimbi zammwe ze mwasasula.” N'abaggyirayo Simyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni.