Genesis 43:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwanika n'abayingiza mu nnyumba ya Yozefu, n'abawa amazzi okunaaba ebigere, n'endogoyi zaabwe n'aziwa essubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze n’okunaaba ebigere, ng’amaze n’okuliisa endogoyi zaabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwanika n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere; n'awa n'endogoyi zaabwe eby'okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwanika n'atwala abooluganda abo mu nnyumba ya Yosefu, n'abawa amazzi ne banaaba ebigere, era n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere byabwe; n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya.