Genesis 43:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalamusa na kisa, n'ababuuza nti: “Kitammwe omukadde gwe mwambuulirako akyali mulamu? Akyali mulamu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ababuuza bwe baali, era n'ababuuza nti, “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ababuuza nti: “Muli mutya?” Era n'agamba nti: “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu? Ali bulungi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ababuuza bwe baali, n'ayogera nti Kitammwe gyali omukadde gwe mwayogerako? Akyali mulamu?