Genesis 43:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baanukula nti: “Omuweereza wo kitaffe ali bulungi, akyali mulamu.” Ne bavunnama ne basinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Ssebo, kitaffe akyali mulamu era ali bulungi.” Ne bavuunama mu bukkakkamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu nti, “Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu.” Ne bakutama, ne bamuvuunamira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Omuweereza wo kitaffe akyali mulamu, era ali bulungi.” Ne bamuvuunamira, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu. Ne bakutama, ne bavuunama.