Genesis 43:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bwe yasitula amaaso, n'alaba Benyamiini muganda we, nnyina bw'abazaala, n'agamba nti: “Ono ye muganda wammwe omuto gwe mwambuulirako?” N'agamba nti: “Katonda akugirire ekisa, mwana wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti, “Oyo ye muto wammwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamiini muganda we, omwana wa nnyina, n'agamba nti: “Oyo ye muganda wammwe asembayo obuto gwe mwambuulirako?” N'agamba Benyamiini nti: “Katonda akukwatirwe ekisa, mwana wange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange.